Kishore Kumar Hits

Chosen Becky - Bankuza şarkı sözleri

Sanatçı: Chosen Becky

albüm: Bankuza


Nessim
Omaze akabanga nga wena wepanka
Nga nkusangasanga naye era nga wemiima
Nga akamessage okalaba nokatikinga
Okasoma atte bwokamala nodeletinga iyi
Nga nze nkanya kunyweezamu
Kakodyo kange butagwamu
Nga buli lwemanya nti oja eno
Nyongeramu n'akaperfume
Olwo nenkumitinga
Nkubuzako nesikwewanyo
Nga naye nze era manyi nti olimukubo oja
Nga buli wembera mbera nkulaba nga nze gwolojja
Kubanga bankuza (oh tebankuza kuza)
Era nebwewekoza (uhmm wadde wekoza koza)
Nze maama yankuza (oh teyankuza kuza)
Byenina mbyesiga (eh nabyesigaliza)
Banange bankuza (oh tebankuza kuza)
Era nebwewekoza (uhmm yade wekoza koza)
Nze maama yankuza (oh teyankuza kuza)
Byenina mbyesiga (eh nabyesigaliza)
Tuula kalila kakana nkuwe kubyentegese
Zuula noonya kuba eriyo bingi byenterese
Noonya, gulawo buli lujji
Lya Ku luwombo atte enkya olye kujji
Va kumulyango, empeewo eyitiride
Oli kubwongo bwange wetulide, iyiyiyi
Naye nsaba kubuuzamu!
Kasukali keeko oba twongeremu?
Otera okubiibyamu, oba gwe oyagala kuwumulamu!
Ye otera okunywanywa mu!
Ndeeta akagilasi tuseemu
Nze kuba mbade manyi nti oli mukubo oja
Nkugambye ebyange bateegeka babisengejja
Kubanga bankuza (oh tebankuza kuza)
Era nebwewekoza (uhmm wadde wekoza koza)
Nze maama yankuza (oh teyankuza kuza)
Byenina mbyesiga (eh nabyesigaliza)
Banange bankuza (oh tebankuza kuza)
Era nebwewekoza (uhmm yade wekoza koza)
Nze maama yankuza (oh teyankuza kuza)
Byenina mbyesiga (eh nabyesigaliza)
Babalimbanga na cake, ebyo ewaffe tebyaliyo
Twasuzanga menvu kyova olaba twanoga
Ffe munange twajjuza, ebyo byolimu mbu abana betala
Ye ne webetala (oh tebankuza kuza)
Twakulira mu kooti bwebalopa tuwoza
Nebwewebuza, wena nga wekoza
Bankuza (oh tebankuza kuza)
Mwana wattu bankuza (oh tebankuza kuza)
A Nick Products

Поcмотреть все песни артиста

Sanatçının diğer albümleri

Benzer Sanatçılar