Yeee, era
Dang! Bang!
Yeee, era
Dang! Bang!
Mpise mu biwonvu na migga
Okulabikako nga nange omuntu
Ennaku gyendabye mu nsi tetendwa
Naye kutoba nyo nange mbewo
Omulimu gwesikoze teguliyo
Wade nga emyaka jikyali mivubuka
Banange bangi nabala bajja era
Ne mbakwatako nabo baveyo
Kati be banfudde emboozi buli gyempita
Buli kalungi ke nfuna kabanyiza
Oyo gwolya naye enkejje enkalirire
Dduma bikulu lyafula erinnya lyo
Nze ekiisa kyenakoleranga banange
Y'empalana gyendiko kati
Ate wewunye asingira ddala okuba obubi
Yasinga n'okujjerega
Naye nze wendi, eh
Mukama yampa, hallo
Ebe nuggu bangi, eh
Naye sifayo, hallo
Mbagambye wendi, eh
Ate sigenda, hallo
Mukomye ebigambo, eh
Muve ku bantu, hallo
Yeah-yeah!
Buli omu aba n'omukisa gwe
Mu bulamu ogugwo si gwe gwange
Ate, buli alya ku ntuyo ze
Atakozze n'okulya gwe tolire
Balemwa otunulira byetwakola
Ne badda otunulira byetwalemwa
Balemwa otunulira betwajjuna
Ne badda otunulira betwasobya
Laba! Bw'oba obubi tewali akulaba
Olutereramu nebakulaba bubi
Bwotambuza ebigere nga baseka
Bwovuga akamotoka nti weraga
Balinga abasanyukira amaziga gange
Buli bwembonabona ge masanyu gabwe
Bafubye nyo okulaba nga nemwa ensi eno
Wade nga sirina musango
Naye nze wendi, eh
Mukama yampa, hallo
Ebe nuggu bangi, eh
Naye sifayo, hallo
Mbagambye wendi, eh
Ate sigenda, hallo
Mukomye ebigambo, eh
Muve ku bantu, hallo
Nze mundeke mbewo maama
Nayita wala okuba bwenti
Nze sibbanga muntu wade omu
Buli kyendya kya ntuyo zange
Najja city nfube mpange
Bwebirigana nzire e Gomba
Mwe abe nnugu mbalangidde
Muve ku bantu mukole ebyamwe (uh!)
Simanyi nze ebe nnugu lwaki tebanvako
Bakole ebibakwatako
Nkola ebirungi, mutwalo tebajjukira
Ebibi tebelabira
Nze naye sigitya nyo, eya ntonda ayinza
Kubanga gwenesiga
Olaba ne ebulaya, ebe nnugu nfafa
Naye ate wano!
Naye nze wendi, eh
Mukama yampa, hallo
Ebe nuggu bangi, eh
Naye sifayo, hallo
Mbagambye wendi, eh
Ate sigenda, hallo
Mukomye ebigambo, eh
Muve ku bantu, hallo
Eh Dream Studio ebewo (eh)
Eddy Yawe abewo (hallo)
Tony Houls abewo (eh)
Ne Wash abewo (hallo)
Bebe Cool abewo (eh)
Ne chamili abewo (hallo)
Ba Eagles babewo (eh)
Tebalina musango (hallo)
Fire Base ebewo (eh)
Butcher Man abewo (hallo)
Oh, Wetha Man abewo (eh)
Wade nga yavawo (hallo)
Aba Taxi babewo (eh)
Ne ba Boda babewo (hallo)
Chairman Nyanzi (eh)
Naye abewo (hallo)
Chris Ruga abewo (eh)
Ne Kazoora abewo (hallo)
Ba DJ babewo (eh)
Ne Ndawusi abewo (hallo)
Nana ne Tanda babewo (eh)
Ne Parrot abewo
Поcмотреть все песни артиста
Sanatçının diğer albümleri