Mukama obadde mulungi gyendi
Obadde mwesigwa nze wesiri
Lengera olugendo luno gyenvude
Mbera mulimba bwengamba nti nze eyeyambye
Ompadde ku ssanyu Mukama
Onerabiza obwaavu Kabaka
Onyize ebiwundu ku mutima gwange
Onsangudde amaziga muwonya
Onwanidde entalo
Kubyokoze nvunama gyoli
Hey hey hey!
Kati nvunama gyoli nkusinze
Ssebo, Hallelujah
Bwenengera gyenvudde watiisa, Ssebo
Nvunama (oh) nvunama gyoli
Hey hey hey!
Kati nvunama gyoli nkusinze
Ssebo, Hallelujah
Bwenengera gyenvudde watiisa, Ssebo
Nvunama (oh) nvunama gyoli
Nvunama (oh) nvunama gyoli
Naliinga omuzibe nga silaba (nga silaba)
Nga mbuyanira mumakubo (oh oh)
Nga ngenda nsimba akaggo mpola (mmh)
Ng'ebiroto byaazika (nga byazika)
Ng'ebyokuba obulungi byazika (mmmh)
Gwe nonkwata ku mukono lwa kisa
N'onkulembera mu mukkubo (oh)
N'ontwala munsi gyessaamanya
N'onkwata kumaaso nendaba (nendaba oh)
Laaba! Nga ndi muddundiro ely'omuddo omuto (hey)
Kumabbari agamazzi amateefu (ago)
Waamu nabalabe bange oh
Ontekeddetekedde emeeza
Onsize amafuta kumutwe (oh)
Ekikompe kiyiiwa (kiyiiwa)
Kubyokoze, nvuma gyoli (oh)
Hey hey hey!
Kati nvunama gyoli nkusinze
Ssebo, Hallelujah
Bwenengera gyenvudde watiisa, Ssebo
Nvunama (oh) nvunama gyoli
Hey hey hey!
Kati nvunama gyoli nkusinze
Ssebo, Hallelujah
Bwenengera gyenvudde watiisa, Ssebo
Nvunama (oh) nvunama gyoli
Nenkuwa ettendo, Ssebo (Nvunama nvunama gyoli)
Nze ani? nvunama (Nvunama nvunama gyoli)
Nze ani gw'okozze ebyekisa? (nvunama, nvunama)
Nvunama, nvunama gyoli
Поcмотреть все песни артиста
Sanatçının diğer albümleri