Nalyooka nenkusenga gwe
Omulokoozi Katonda
Kyenvudde nsanyuka nyinni
Nenjatula bwensanyuse
Nsanyusse Nsanyusse
Yesu yanazaako ebibi
Anjagaza byayagala
Ansanyusa ennaku zonna
Nsanyusse nsanyusse
Yesu yanazaako ebibi
Namusenga natangoba
Nze ndi wuwe naye wange
Ampiita nenditegera
Ddoboozi lye nga lya Yesu
Nsanyusse nsanyusse
Yesu yanazaako ebibi
Anjagaza byayagala
Ansanyusa ennaku zonna
Nsanyusse nsanyusse
Yesu yanazaako ebibi
Edda nasagasagana
Kakano nteredde ku'ye
Sikyamusenguka alina
Mukama yalina byonna
Nsanyusse nsanyusse
Yesu yanazaako ebibi
Anjagaza byayagala
Ansanyusa ennaku zonna
Nsanyusse nsanyusse
Yesu yanazaako ebibi
Nalayira nti ndi wuwo
Nakyogeranga bulijjo
Era muntuuko ez'okufa
Ndisanyuka okuba owuwo
Nsanyusse nsanyusse
Yesu yanazaako ebibi
Anjagaza byayagala
Ansanyusa ennaku zonna
Nsanyusse nsanyusse
Yesu yanazaako ebibi
Erinnya lya Yesu Ddungi eri akkiriza
Lisangula amaziga ge
Limalawo okutya
Litereza n'omwooyo gwe
Linyiiga ebiwundu
Y'emere y'omuyaala era
Liwumuuza akooye
Erinnya ganzi lwelwazi
Kwenzimba enju yange
Lyegwaniika eritagwamu
Emirembe gyonna
Musumba wange nkwebaaza
Mulokoozi wange
Bulamu bwange nkwebaaza
Era ekubo lyange
Okufuba kwange kyoona
Tekulimu manyi
Naye bwendikulabako
Ndikutendereza
Поcмотреть все песни артиста
Sanatçının diğer albümleri