Kishore Kumar Hits

Gnl Zamba - Story Ya Lukka şarkı sözleri

Sanatçı: Gnl Zamba

albüm: Koyi Koyi


Eno ye story ya Lukka
Yenna eyagamba
Nti omusajja takaaba maziga
Ha! Yali tamanyi ky'ayogerako
GNL
Lukka
Embeera y'obudde etandise okukyuka
Abookukyalo batandise kumusoma nga sticker
Ntino yeebisse mu ssuuka
Simanyi oba anassuuka
Simanyi oba anaayimuka
Yali DJ nga nze oba nga gwe
Yazaalibwa Kyaggwe
Yali akuuta Turntables nga kyangwe
He had everything going his way
Muvubuka mulungi
Nga buli muwala amulwanira ntino wuwe
Oh! baabuwe
Kati bagamba alina siriimu
Ennyama yamuggwaako ng'atabanga kanyama wa mu gym
Ebiwuka by'alina tebittibwa Jik oba Vim
From the way he looks nobody ever wants to be with him
Kulwekyo, emikwano gy'abadde alina gyonna gigenze
N'abaamwagala kuba bank account yali egezze
Weteeke mu ngatto ze
Ki kyewandikoze ng'okozze?
Ng'ensi ekuyisa ng'amawolu ge batoze
Ha!, Lukka baamusanga yeetuze
Lukka baamusanga yeetuze
Lukka baamusanga yeetuze
Listen
Eno ye story ya Lukka
Buli mulwadde wa siriimu
Tandika okumuyisa ng'omuntu
Leka okusonga buli ssaawa lw'obeera
Ng'omulabye mu ttuntu
Because exactly the same thing could happen to you too
Mwagale nga bwe weeyagala
Byali bigambo bya Kristu
Saagala oseke
Buli lw'olaba obutulututtu
Because exactly the same thing could happen to you too
Buli mulwadde wa siriimu
Tandika okumuyisa ng'omuntu
Ng'omuntu, listen!
Yali ava ku show ya ba rapper, Lukka
Teyamanya nti lwe lunaku siriimu lwalimuwanika kalabba
Olunaku lwe yali nga talina rubber
Lwe yasanga malayika, e Kansanga
Kw'emu kw'ezo counter eza Al's Bar
Yamugulira Smirnoff Ice zaali nnya
Kaali kaama
Omuwala n'amugamba nti ye yali mbeerera
Baazukuka wamu enkeera
Kati laba Lukka, bw'atandise okuweekeera
Eyali anoonya essanyu ssiriimu gw'afunyeemu ng'empeera
Obulamubwe butandise kkaluba nga ppeera
Takyafuluma mu nnyumba, eyo gy'abeera (kuba atyaayo)
Kati akoleeza Rex
Okwelabira his incident of unprotected sex
AIDS has erased his dream of ever driving a Lex
Obulwadde bumuzinze mu ssuuka
Ng'eggi bwe libeera mu rolex (yalina ekirooto)
Takyafuluma mu nnyumba
Kuba buli lw'afuluma mu nnyumba
Basonga, baseka, bagamba
Ebbugumu ly'abavubuka
Likkakkannyizibwa na biwuka
Eno ye story ya Lukka
Buli mulwadde wa siriimu
Tandika okumuyisa ng'omuntu
Leka okusonga buli ssaawa lw'obeera
Ng'omulabye mu ttuntu
Because exactly the same thing could happen to you too
Mwagale nga bwe weeyagala
Byali bigambo bya Kristu
Saagala oseke
Buli lw'olaba obutulututtu
Because exactly the same thing could happen to you too
Buli mulwadde wa siriimu
Tandika okumuyisa ng'omuntu
Ng'omuntu, listen
Bakyakuwaanawaana kuba abakazi obayitamu nga striker
Buli omu ofumita n'oggyamu owulira olina effumu lya shark
Naye k'obe muddu oba Kabaka
Ng'onyirira nga Straka
Ssiriimu aggya ku kubaka
Wuliriza obubaka
Ssiriimu mulwanyise nga Mugabe bw'alwanyisa abazungu
Ne neighbor mugambe ntino aggyeyo akambe
'Cause we are draw with AIDS people
We're callin' you for backup oyo akooye ng'omuweeka
Omulwadde, siraba lwaki omugoba eka!
Sanyukira wamu naye nga mutudde wamu kakeeka
Oba munno akwatibbwa amajimbi
Kitono nnyo okutoola ku nsimbi
Mulage okwagala
Ng'empaleze zitandise okusagala
Mukubirize okumira eddagala
A system
The saddest day was when Allan my cousin teen was a victim
AIDS was in his body breaking down his system
I did what I could
To keep my brother, alive in the hood
I understood
Joy only comes from lending a weak man a hand
A nation built on discrimination is like a house built on sand
I understand
That AIDS is an enigma
But we got to find it in our hearts to fight the stigma
We connect to our brothers like greek signs of sigma
If you got AIDS in your body
(I feel for you)
This song is out for you man
Listen
Buli mulwadde wa siriimu
Tandika okumuyisa ng'omuntu
Leka okusonga buli ssaawa lw'obeera
Ng'omulabye mu ttuntu
Because exactly the same thing could happen to you too
Mwagale nga bwe weeyagala
Byali bigambo bya Kristu
Saagala oseke
Buli lw'olaba obutulututtu
Because exactly the same thing could happen to you too
Buli mulwadde wa siriimu
Tandika okumuyisa ng'omuntu
Ng'omuntu, listen!
You know
Sometimes living with AIDS doesn't mean
The victims themselves
It's you living with a mother with AIDS
Sister, a cousin
Could be your loved one, anybody
Could be a child born with AIDS
Let's stop the stigma
It's every global citizen's responsibility
It's your responsibility
It's my responsibility

Поcмотреть все песни артиста

Sanatçının diğer albümleri

Benzer Sanatçılar